Zabbuli 133

1 Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.

3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.

Open in the app to highlight, add notes, listen and ask Faith about this chapter.

Creative Commons Attribution-ShareAlike (CC BY-SA 4.0). Source: eBible.org.