Zekkaliya 13
1 “Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.
2 “Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
3 Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
4 “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
5 Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’
6 Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ” Isirayiri Ebonerezebwa
7 “Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Kuba omusumba endiga zisaasaane nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
8 Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama, “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo, naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
9 Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro, ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa. Balikoowoola erinnya lyange nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’ era nabo baliddamu nti, ‘ Mukama ye Katonda waffe.’ ”
Open in the app to highlight, add notes, listen and ask Faith about this chapter.
Faith Heals Bible